Tokendeeza Lyrics – Geosteady

Aaaah
Aaaah
Nze nsanyuse nnyo
Bw’onkubidde leero kasimuko
Ekirowoozo nkyakirina
Ye kati ate ŋaane ntya eh
Kinsuza ntya nnyo
Ondese nze ne nkuba obulango
Mba ng’ali mu ddungu
Ewatali yadde otuzzi otwokya
Jjukira akagambo ko ako kampi katono
Kansiiwa ng’omumwa gw’empiso
Era ebintu byo ebyo byankuba nnyo
Babe eh eh eh

Kati tokendeeza aaaah
Tokyusanga
Nina mungi gubula na kwabika
Kati tokendeeza aaaah
Tokyusanga
Nina mungi gubula na kwabika

Omanyi gye nva nze wala nnyo
Bankuza bulungi ate n’eggonjebwa
Bye sisobola nze mbivaako
Kuba binnumya omutima okkamala
Naye wansobera walya ki?
Anumya ng’ate era bwe nzira
Buli lwe nkulaba nsanyukirawo
Ndowooza Katonda yakundeetera
Jjukira akagambo ko ako kampi katono
Kankuba ng’omumwa gw’empiso
Era ebintu byo ebyo bya nkuba nnyo
Oh oh oh oh

Nandiba mutima gwo
Olunaku lulikya n’ondwaza
Nkaaba ng’alumwa enjala
Oba omuto nga talina nywanto
Nze kati mu nkola enyangu
Kanyanguwe nkunaanike akaweta
Abafere tebatuzza emabega
Kuba nkimanyi bangi abansinga nze
Jjukira akagambo ko ako kampi katono
Kansiiwa ng’omumwa gw’empiso
Era ebintu byo ebyo bya nkuba nnyo
Oh no oh oh 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: This content is protected by redpaperdaily.com