Violah
Mukama nkusaba abalabe bange bonna
Obaleke mu mwaka omukadde
Mukama golola omukono gwo kuba
Obuyinza buli mu mikono gyo
Ebyo ebikolimo eby’ababi bonna
Bisigale mu mwaka omukadde
Mukama golola omukono gwo kuba
Bye mpiseemu bingi mu mwaka omukadde
Ku mulimu gye nkola abalabe bangi
Nsaba basigale mu mwaka omukadde
Mukama golola omukono gwo kuba
Obuyinza buli mu mikono gyo
Taata obutafuna bambi ne nfiirwa
Nkusaba bisigale mu mwaka omukaddee
Mukama golola omukono gwo kuba
Bye mpiseemu bingi mu mwaka omukadde
Mukama wampa engalo eziyiiya olaba nkola
Nkusaba emitego gye nteze gikwase
Mukama golola omukono gwo kuba
Obuyinza buli mu mikono gyo
N’abatalina, abangi bonna
Nkusaba taata, obasseeko omukono gwo
Mukama golola omukono gwo kuba
Bye mpiseemu bingi mu mwaka omukadde
Mukama Naalu yayagala nsiraa
Nkusaba asigale mu mwaka omukadde
Mukama golola omukono gwo kuba
Obuyinza buli mu mikono gyo
Mukama Katonda nkuwadde omwoyo gwange
Ompe obukuumi nga ssirumbwa balala
Mukama golola omukono gwo kuba
Bye mpiseemu bingi mu mwaka omukadde
Mu guno omwaka omupya
Nfune emikwano egingasa
Eginkulaakulanya nneme kubula
Mukama golola omukono gwo kuba
Obuyinza buli mu mikono gyo
Mikwano gyange bambi eginkuuma
Nsaba obawe obukuumi nabo obubamala
Mukama golola omukono gwo kuba
Obuyinza buli mu mikono gyo
Guno omukadde gubadde nga ttanuulu
Ooh mbadde ng’ali mu ttanuulu, hmm!
Mukama golola omukono gwo kuba
Bye mpiseemu bingi mu mwaka omukadde
Uh bbiri abiri, ye tabadde mwangu
Nkusaba abiri mu gumu ebeeremu omukisa
Mukama golola omukono gwo kuba
Obuyinza buli mu mikono gyo
Taata munnange omukisa gwange
Nguteeka mu mikono gyo egy’okufuna
Mukama golola omukono gwo kuba
Bye mpiseemu bingi mu m