Sam Wange Lyrics – Sheebah Karungi & Daddy Andre

Ooh, eeh, eih
Aah, eeh, eeh

Guluma guluma (guluma)
Omukwano guba gwakabi ttaabu
(Nange ngwerabiddeko)
Laba nkaaba, nsinda
Omukwano guba gwakabi ttaabu

Emikwano giba gy’akabi Sam ky’ekyo
Nange nkyerabiddeko
Kubanga ekibonyabonya obulamu bwange
Mpulira nkwagala
Maama ekinsagambiza n’obudde okukya
Ate era nenzibya
Mpulira nkwagala kufa simanyi kwekiva
Ye mukwano wankolaki?
Bangi abalumizibwa, baleke balumwe
Ate banaddawa?
Bulikya nembatuulira nze nemba mu maka
Ate balimpitawa?
Taata nkozze nnyo simanyi kwekiva
Mpulira nkudaagira darli wange

Kimuli kyange akasana akaberyeberye
Omulenzi wange
Kimuli kyange akasana akaberyeberye
Sam gyali
Sam wange maama
Kimuli kyange maama
Sam wange maama

Maama n’akola ntya kulwange kaŋŋume
Ate nze naddawa?
Wabula ekintu kyendabye nze ntuuse okufa
Kulwabo b’olina
Bangi abampalanira omulenzi wange
Naye maama ne nsirika
Mbalaba nga kibaluma kinene
Naye ate nze nsinga
Bangi nnyo abaagala Sam
Era nange abangeya
Wadde nga ssi muntu wa nsimbi
Naye mpulira mmwagala
Kaakati twafuuka ba mmamba
Buli omu bambi awaana yiye
Baleke balumwe bambi

Kimuli kyange akasana akaberyeberye
Omulenzi wange
Kimuli kyange akasana akaberyeberye
Sam gyali
Sam wange maama
Kimuli kyange maama
Sam wange maama

Nze nange njagala nnyo okufuna ku maka
Naye nga ebizibu by’ebingi
Kansabe Katonda ampe nga nange bwempakasa
Byonna Katonda ebyo y’ayamba
Kale kibeera kitya nga nnyingidde mu maka
Ng’erinnya erimpitibwa lya mwami
Sheebah ekintu kyendabye towankawankanga
Ekyo kyo kibeera kibi ttaabu
Olina okulinda ennyo bwentyo ngumiikirize
Okutuuka bwendifunira ensimbi
Wabula mwanamuwala teweerariikirira
Oyinza okulowooza nti nnimbye
Ndese kubye akawuna kawoolere
Taata omundabira nnyo ŋŋenze
But keep our love, secretly
Nkulaba b’obibuulira bangi

Guluma guluma
Omukwano guba gwakabi ttaabu
(Nange ngwerabiddeko)
Laba nkaaba, nsinda (guluma maama)
Omukwano guba gwakabi ttaabu (eh, eh!)
Guluma guluma
Omukwano guba gwakabi ttaabu
Laba ndaaga, ndaaga
Omukwano guba gwakabi ttaabu

Ooh, eeh, eih
Aah, eeh, eeh

Suggested For You

Rema – Calm Down ft. Selena Gomez (Lyrics)

Buule John

Body Lyrics -Karole Kasita

Buule John

Adekunle Gold – 5 Star (Lyrics)

Buule John

Omumanyi Lyrics – Feffe Bussi

Buule John

Buga Lyrics – Kiz Daniel ft Tekno

Buule John

Tubaale Lyrics – Chris Evans ft. Mary Bata

Buule John

Nkwata Bulungi (Bailamos) Lyrics – Sheebah Karungi

Buule John

Beera Nange Lyrics – Sheebah Karungi

Buule John

Wana Wankya Lyrics – Benti Boys Africa

Buule John

Nsudiya Lyrics – Aroma

Buule John

Doctor Lyrics -Spice Diana

Buule John

Tukimala Lyrics – Rahma Pinky x Nina Roz

Buule John
error: This content is protected by redpaperdaily.com