Story Ya Semanda Lyrics – Allan Hendrik

Ku kyalo gye nakulira
Waaliyo akalenzi ewa Bazibumbira
Okunaaba kaali keddira
Ng’emputtu nnyingi mu mutwe nkubuulira
Mungu ng’ageze bazadde baako
Baafuba nnyo bambi kasome
Olw’enjaga kabirese ettamiiro
N’enjaaye obubbi gy’emize
Akaliba akendo okalabira ku mukonda
Gano ageesigika gavudde mu nsonda (awo)
Sizze kukuba naye ntema mpenda
Tuula kkalira story nkyasomba (Sabula!)

Eno story ya Semanda
Leka nkunyumize Semanda
Bulamu bw’akubakuba yuza Semanda
Kati yaddayo kulenga manda
Eno story ya Semanda
Leka nkunyumize Semanda
Bulamu bw’akubakuba yuza Semanda
Kati yaddayo kulenga manda

Ono katuulo kennyini
Ku ngulu powa munda busagwa bwennyini
Ssi nti oba kkuba njiri
Mukutamye buuza munno ku bbali
Maanyi ameemanye gamala ebita e mugga
Gundi kimanye (ky’ekyo baaba ky’ekyo baaba)
Kendeeza emize bwotakikola gundi entaana basime
Kati gwe kkalira gundi ova ku lugendo
Tebakukutula guli omugongo (sabula)
Kendeeza enjaga, akabanga, omwenge gwe nno
Okukugamba teguba musango

Eno story ya Semanda (wulululu)
Leka nkunyumize Semanda
Bulamu bw’akubakuba yuza Semanda (mazima)
Kati yaddayo kulenga manda
Eno story ya Semanda
Leka nkunyumize Semanda
Bulamu bw’akubakuba yuza Semanda
Kati yaddayo kulenga manda

Wulira, akuba emiti entakera (Semanda)
Aba Semanda
Alippira abanene n’avuma
Aba Semanda
Ateewa kitiibwa yeesoma
Aba Semanda (ky’ekyo baaba, ky’ekyo baaba)
Ayepika mubyatasobola
Aba Semanda
Transport money naatalabika
Aba Semanda
Akwata abaana n’abadingisa
Aba Semanda
Eyegaana embuto ze yafunisa
Aba Semanda
Gw’owa fees n’azizannyisa
Aba Semanda
Ow’akaboozi ng’akatunda
Aba Semanda
Akuba omukyala
Aba Semanda
Atulugunya omwana
Aba Semanda
Akuba akabanga (alalalala)
Aba Semanda

Eno story ya Semanda
Leka nkunyumize Semanda
Bulamu bw’akubakuba yuza Semanda
Kati yaddayo kulenga manda
Eno story ya Semanda
Leka nkunyumize Semanda
Bulamu bw’akubakuba yuza Semanda
Kati yaddayo kulenga manda
Ky’ekyo baaba, ky’ekyo baaba

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: This content is protected by redpaperdaily.com